Ezekiel 25:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kuwoolera eggwanga ku bo n'amaanyi, mbabonereze mu busungu bwange. Bwe ndimala okuwoolera eggwanga ku bo, balimanya nti nze Mukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibawoolera eggwanga n’ebibonerezo eby’amaanyi eby’ekiruyi. Balimanya nga nze Mukama, bwe ndiwoolera eggwanga ku bo.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndibabonereza n'obukambwe, mpoolere eggwanga ku bo. Kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndiwoolera eggwanga ku bo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibabonereza n'obukambwe, mpoolere eggwanga ku bo. Olwo balimanya nga Nze Mukama, bwe ndiwoolera eggwanga ku bo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndiwalana ku bo eggwanga ekkulu nga mbanenya n'ekiruyi: kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndibateekako eggwanga lyange.