Ezekiel 25:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gamba Abammoni nti: ‘Muwulire ekigambo ky'Omukama Katonda. Omukama Katonda kino ky'agamba: Nga bw'omaze n'ogamba ku kitukuvu kyange nti: “Ka alabe!” nga kijaajaamiziddwa, ne ku nsi ya Yisirayeli ng'efuuse matongo, ne ku nnyumba ya Yuda bwe baagenda mu buwaŋŋanguse,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bagambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, kubanga mwakuba mu ngalo ne mwogera nti, “Otyo!” ku watukuvu wange bwe wayonooneka, n’ensi ya Isirayiri bwe yafuuka amatongo, ne ku bantu ba Yuda bwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bagambe abaana ba Amoni nti, Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda: bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Kubanga mwagamba nti, ‘Otyo!’ ku watukuvu wange bwe wayonooneka; n'ensi ya Isiraeri bwe yafuuka amatongo, ne ku bantu ba Yuda bwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obagambe nti: ‘Muwulire Mukama Afugabyonna ky'agamba. Agamba nti nga bwe mwasanyuka okulaba ng'Ekifo kyange Ekitukuvu kyonooneddwa, n'okulaba ng'ensi ya Yisirayeli efuuse matongo, era ng'ab'Eggwanga lya Buyudaaya batwaliddwa mu buwaŋŋanguse nga basibe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ogambe abaana ba Amoni nti Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda: bw'ati bw'ayogera Mukama nti Kubanga wayogera nti Nyeenya, eri awatukuvu wange, bwe wayonooneka; n'eri ensi ya Isiraeri bwe yazisibwa; n'eri ennyumba ya Yuda bwe baagenda mu busibe: