Ezekiel 25:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nange nzija kubawaayo mu bantu b'ebuvanjuba babezze ng'ekyabwe. Balizimba ensiisira zaabwe mu ggwe n'ebisulo byabwe ne babikuba mu ggwe; balirya ebibala byo ne banywa amata go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kyendiva mbawaayo eri abantu ab’Ebuvanjuba mube bantu baabwe ab’obwannanyini. Balikola olusiisira mu mmwe ne basiisira wakati mu mmwe, era balirya ebibala byammwe ne banywa n’amata gammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale kyendiva mbawaayo eri abantu ab'ebuvanjuba okubatwala, balikuba ensiisira zaabwe mu nsi yammwe, ne batuula mu mmwe, balirya ebibala byammwe ne banywa n'amata gammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kale ndibawaayo, abantu abava ebuvanjuba ne babawangula. Balikuba ensiisira zaabwe mu nsi yammwe, ne bagibeeramu. Balirya ebibala bye mulimye, era ne banywa amata g'ensolo zammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
laba, kyendiva nkuwaayo eri abaana ab'ebuvanjuba okuba obutaka, kale balisiisira ensiisira zaabwe mu ggwe, ne batuula mu ggwe; balirya ebibala byo, era balinywa amata go.