Ezekiel 25:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rabba ndikifuula ddundiro lya ŋŋamiya, n'ebibuga by'Ammoni, kiwummuliro kya ndiga. Olwo mulimanya nti nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndifuula Labba okubeera eddundiro ly’eŋŋamira ne Amoni ne mufuula ekifo endiga we ziwummulira. Olwo mulimanya nga nze Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndifuula Labba ekisibo eky'eŋŋamira, n'ensi ya b'Amoni okuba ekifo embuzi we zigalamira, olwo mulimanya nga nze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndifuula Ekibuga Rabba ekisibo eky'eŋŋamiya, n'ensi ya Ammoni yonna, ne ngifuula ekifo omugalamira amagana g'endiga n'embuzi, mulyoke mumanye nga Nze Mukama.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndifuula Labba okuba ng'ekisibo eky'eŋŋamira, n'abaana ba Amoni okuba ng'ekifo embuzi we zigalamira: kale mulimanya nga nze Mukama.