Ezekiel 25:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Kubanga Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga wakuba mu ngalo n'osambagala n'okusambagala, ng'osagambiza olw'obunyoomi bwo bwonna mu mutima bwe walina ku nsi ya Yisirayeli,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: kubanga wakuba mu ngalo, n’osambagala n’ebigere, n’osanyuka n’ettima lyonna ery’omutima gwo n’osekerera ensi ya Isirayiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga wakuba mu ngalo, n'osambagala n'ebigere, n'osanyuka n'ettima lyonna ku nsi ya Isiraeri,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna, agamba nti: “Nga bwe mukubye mu ngalo ne musagambiza, ne mulaga ettima n'effutwa bye mulina ku nsi ya Yisirayeli,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga okubye mu ngalo, n'osamba n'ebigere, n'osanyukira ku nsi ya Isiraeri n'ekyejo kyonna eky'omu mmeeme yo;