Ezekiel 25:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nange nno nzija kukugololerako omukono gwange nkuweeyo ng'omunyago mu mawanga; nzija kukukutula ku mawanga, nkuzikirize ku nsi; nzija kukusaanyaawo, olwo olimanya nti nze Mukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kyendiva nkugololerako omukono gwange era ndikuwaayo okuba omunyago eri amawanga. Ndikusalirako ddala ku mawanga era nkumalirewo ddala okuva mu nsi. Ndikuzikiriza, era olimanya nga nze Mukama.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kyendiva nkugololerako omukono gwange, nnenkuwaayo okuba omunyago eri amawanga; Ndibazikiririza ddala ne mutaddayo kuba ggwanga, wadde okuba n'ensi eyammwe ku bwammwe, mulyoke mumanye nga nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ndibabonereza ne mbawaayo mu buyinza bw'ab'amawanga amalala, babanyage. Ndibazikiririza ddala ne mutaddayo kuba ggwanga, wadde okuba n'ensi eyammwe ku bwammwe, mulyoke mumanye nga Nze Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
laba, kyenvudde nkugololerako omukono gwange, era ndikuwaayo okuba omunyago eri amawanga; era ndikuzikiriza mu mawanga, ne nkumalamu mu nsi ezo: ndikufaafaaganya; kale olimanya nga nze Mukama.