Ezekiel 25:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga Mowabu ne Seyiri baagamba nti: ‘Ennyumba ya Yuda efuuse ng'amawanga amalala,’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Mowaabu ne Seyiri baayogera nti, “Laba ennyumba ya Yuda efuuse ng’amawanga amalala gonna,”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga Mowaabu ne Seyiri boogera nti, Laba, ennyumba ya Yuda efuuse ng'amawanga amalala gonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ab'e Mowaabu ne Seyiri nga bwe bagamba nti Buyudaaya eri ng'amawanga amalala gonna, Zef 2:8-11
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga Mowaabu ne Seyiri boogera nti Laba, ennyumba ya Yuda efaanana amawanga gonna;