Ezekiel 25:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kale nno nzija kwerula olusozi lwa Mowabu nga ntandikira ku bibuga eby'oku nsalo, ettendo ly'ensi ye: Beti-Yesimoti, Baali-Mewoni ne Kariyatayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kyendiva nswaza oluuyi olumu olwa Mowaabu okutandika n’ebibuga ebiri ku nsalo yaakyo, Besu Yesimosi, ne Baalu Myoni, ne Kiriyasayimu, ekitiibwa ky’ensi eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kye ndiva ndeka abantu b'ebuvanjuba okulumba ebibuga bya Mowaabu ebiri ku nsalo yakyo: Besuyesimosi, Baalumyoni, ne Kiriyasayimu, ekitiibwa ky'ensi eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ebibuga ebitaasa ensalo za Mowaabu omuli n'ebibuga Beti Yesimooti, ne Baali Mewooni ne Kiriyatayiimu ndibireka ne birumbibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
laba, kyendiva mbaggulira abaana b'ebuvanjuba oluuyi lwa Mowaabu okuva mu bibuga, okuva mu bibuga bye ebiri ku nsalo ye, ekitiibwa eky'ensi, Besuyesimosi, Baalumyoni, ne Kiriyasayimu,