Ezekiel 26:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akeesedde k'embalaasi ze kalikubikka enfuufu, bbugwe wo alikankana olw'omusinde gw'embalaasi, n'encaako y'amagaali n'ebigaali, bw'aliyingira emiryango gyo, ng'ayingira mu kibuga ekyabiziddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Embalaasi ze ziriba nnyingi nnyo, n’enfuufu yaazo erikubikka era ne bbugwe wo alinyeenyezebwa olw’amaloboozi g’embalaasi ennwanyi, n’olw’ebiwalulibwa n’amagaali bw’aliyingira mu wankaaki wo, ng’abasajja bwe bayingira mu kibuga, nga bbugwe waakyo abotoddwamu ekituli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Embalaasi ze ziriba nnyingi nnyo, n'enfuufu yaazo erikubikka. Bbugwe wo alikankana olw'oluyoogaano lw'abo abeebagala embalaasi ne nnamuziga n'amagaali, nga bayingira mu miryango gyo, ng'abantu bwe bayingira mu kibuga ekikubiddwamu ekituli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Embalaasi ze eziyinze obungi, zirisitula enfuufu n'ekubikka. Omusinde n'oluyoogaano lw'embalaasi, ne nnamuziga, n'amagaali, birikankanya ebisenge byo ng'ayingira mu miryango gyo, ng'ayita mu miryango gyo nga bwe bayita mu bisenge by'ekibuga ebikubiddwamu ebituli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Embalaasi ze kubanga ziyinze obungi, enfuufu yaazo erikubikkako: babbugwe bo balikankana olw'oluyoogaano lw'abo abeebagala embalaasi ne bannamuziga n'amagaali, bw'aliyingira mu miryango gyo, ng'abantu bwe bayingira mu kibuga ekiwaguddwamu ekituli.