Ezekiel 26:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balinyaga obugagga bwo bwonna, by'olina ne babyaya; bbugwe wo balimwabya n'ennyumba zo amakula ne bazimenya; amayinja go n'emiti, n'amafunfugu balibikasuka mu nnyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balinyaga obugagga bwo ne babba n’ebyamaguzi byo; balimenya bbugwe wo ne basaanyaawo n’ennyumba zo ennungi, n’amayinja go n’embaawo zo era n’ebifunfugu birisuulibwa wakati mu nnyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era balinyaga obugagga bwo, n'eby'obuguzi bwo balibifuula omuyiggo: era balimenyera ddala bbugwe wo, ne bazikiriza ennyumba zo ez'okwesiima: era baligalamiza amayinja go n'emiti gyo n'enfuufu yo wakati mu mazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibyo ebyobugagga n'eby'obusuubuzi, balibiwenja yonna gye biri ne babinyaga. Balimenyawo ebisenge byo, ne bazikiriza amayumba go amalungi. Amayinja go, n'embaawo zo, n'ebibyo ebirala byonna bye boonoonye, balibisuula mu nnyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era balinyaga obugagga bwo, n'eby'obuguzi bwo balibifuula omuyiggo: era balimenyera ddala babbugwe bo, ne bazikiriza ennyumba zo ez'okwesiima: era baligalamiza amayinja go n'emiti gyo n'enfuufu yo wakati mu mazzi.