Ezekiel 26:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukufuula olwazi olwereere, ofuuke ekifo aw'okwanika obutimba; toliddayo kuzimbibwa, kubanga nze njogedde, Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikufuula olwazi olwereere, era olibeera ekifo eky’okwanjulurizangamu obutimba obw’ebyennyanja. Tolizimbibwa nate, kubanga nze Mukama njogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndikufuula olwazi olwereere, era onoobanga kifo kya kutegerangako migonjo: tolizimbibwa nate: kubanga nze Mukama nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikufuula lwazi olwereere, abavubi kwe banaayanikanga obutimba bwabwe, era toliddamu kuzimbibwa, kubanga nze Mukama Afugabyonna njogedde.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikufuula olwazi olwereere: era onoobanga kifo kya kutegerangako migonjo: tolizimbibwa nate: kubanga nze Mukama nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda.