Ezekiel 26:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama Katonda kino ky'agamba Tiiro: Embalama teziriyuuguuma nga ziwulidde bw'ogudde, abafumitiddwa nga basindogoma n'okusanjaga nga kugenda mu maaso mu makkati go?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri Ttuulo nti, Ebifo ebiri ku lubalama lw’ennyanja tebirikankana olw’okubwatuka olw’okugwa kwo, abaliba balumizibbwa bwe balisinda, n’abalala ne battibwa wakati mu ggwe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba Ttuulo nti Ebizinga tebirikankana olw'okubwatuka olw'okugwa kwo, abaliko ebiwundu bwe balisinda, ng'okutta kuli wakati mu ggwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba Tiiro nti: “Olowooza ab'okubizinga bwe baliwulira okubwatuka kwo ng'ogwa, n'okusindogoma kw'abafumitiddwa nga batirimbulirwa mu ggwe, tebalikankana?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba Ttuulo nti Ebizinga tebirikankana olw'okubwatuka olw'okugwa kwo, abaliko ebiwundu bwe balisinda, ng'abattira ekiwendo wakati mu ggwe?