Ezekiel 26:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu bonna ab'oku lubalama baliva ku ntebe zaabwe ne bakka, ne beeyambula eminagiro gyabwe n'ebyambalo byabwe ebya langi entobeke, ne babisuula eri. Nga bajjudde okuwuniikirira, balituula mu ttaka ne babeera awo nga bakankana butamala, beewuunya ekikutuuseeko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo abalangira bonna ab’oku lukalu lw’ennyanja baliva ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka ne bambulamu ebyambalo byabwe ne baggyako n’engoye zaabwe ez’emiddalizo. Mu kutya okungi, balituula wansi ku ttaka, nga bakankana buli kaseera nga basamaaliridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abalangira bonna ab'ennyanja baliva ku ntebe zaabwe, ne bambula ebyambalo byabwe, ne beggyako engoye zaabwe ez'eddalizi: balyambala okukankana; balituula ku ttaka nga bakankana, n'okusamaalirira buli kaseera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bakabaka bonna ab'ensi eziriraanye ennyanja, baliva ku ntebe zaabwe ez'obwakabaka, ne baggyako eminagiro gyabwe, ne bambulamu ebyambalo byabwe ebiriko amajolobera, nga bakankana, ne batuula wansi ku ttaka nga batintima buli kaseera, nga bawuniikiridde olw'ebikutuuseeko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abalangira bonna ab'ennyanja baliva ku ntebe zaabwe, ne bambula ebyambalo byabwe, ne beggyako engoye zaabwe ez'eddalizi: balyambala okukankana; balituula ku ttaka nga bakankana buli kaseera ne bakusamaaliririra.