Ezekiel 26:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo balikuyimbira oluyimba olw'okukungubaga nga bagamba nti: “ ‘Ozikiridde otya ggwe asula ku nnyanja, ekibuga ekitutumufu, ekyali eky'amaanyi ku nnyanja, ggwe na bonna abakusulamu abaakubanga entiisa abatuuze b'eyo!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balikukungubagira ne bakugamba nti, “ ‘Ng’ozikiriziddwa, ggwe ekibuga ekyatutumuka, ekyabeerangamu abantu abalunnyanja. Wali wa maanyi ku nnyanja, ggwe n’abantu bo, watiisatiisanga bonna abaabeeranga ku lubalama lw’ennyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era balitandika okukukungubagira ne bakugamba nti Ng'ozikiridde, ggwe eyatuulwangamu abalunnyanja, ekibuga ekyayatiikirira, ekyalina amaanyi ku nnyanja, kyo n'abo abakituulamu, abaaleetanga entiisa ku abo bonna abaagitambulirangamu!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balikukungubagira nga bakugamba nti: ‘Ng'ozikiridde ggwe ekibuga ekyabeerangamu abalunnyanja! Nga wayatiikirira! Wali wa maanyi ku nnyanja: ggwe n'abatuuze bo, nga mutiisa abagisaabalako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era balitanula okukukungubagira ne bakugamba nti Ng'ozikiridde, ggwe eyatuulwangamu abalunnyanja, ekibuga ekyayatiikirira, ekyalina amaanyi ku nnyanja, kyo n'abo abakituulamu, abaagwisaako entiisa yaabwe ku abo bonna abaagitambulirangamu!