Ezekiel 26:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kubanga Omukama Katonda kino ky'agamba: Bwe ndikufuula ekibuga amatongo, ng'ebibuga omutabanga asulamu, era bwe ndikusitulirako eddubi, amazzi enkumu ne gakubikka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Bwe ndikufuula ekibuga ekirimu ebifulukwa, ng’ebibuga ebitakyabaamu bantu era bwe ndikuyimusizaako obuziba bw’ennyanja, n’amazzi gaayo ne gakubikka,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Bwe ndikufuula ekibuga ekyalekebwawo, ng'ebibuga ebitatuulwamu; bwe ndikulinnyisaako ennyanja, amazzi amangi ne gakubikkako;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Bwe ndikufuula ekibuga ekyalekebwa awo ettayo, n'oba ng'ebibuga ebitakyabeeramu bantu, bwe ndikubunduggulako ennyanja, amazzi amangi ne gakubuutikira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Bwe ndikufuula ekibuga ekyalekebwawo, ng'ebibuga ebitatuulwamu; bwe ndikulinnyisaako ennyanja, amazzi amangi ne gakubikkako;