Ezekiel 26:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, kubanga Tiiro yayogera ku Yeruzaalemu nti: “ ‘Ka alabe, omulyango gw'amawanga gumenyeddwa, enzigi bazimmanduliddewo, kati ng'afuuse matongo, nzija kugaggawala!’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, kubanga Ttuulo yakuba mu ngalo n’ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Otyo! Omulyango ogw’amawanga gumenyeddwa, era n’enzigi zinzigguliddwa kaakano nga bw’afuuse amatongo, ndigaggawala,’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu, kubanga Ttuulo yakuba mu ngalo n'ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Otyo! oyo amenyese eyabanga omulyango ogw'amawanga, nze nzize mu kifo kyakyo, kaakano nja kugaggawala.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, Tiiro nga bwe kyayogera ku Yerusaalemu nti: ‘Otyo! Yerusaalemu ekyali omulyango gw'obusuubuzi bw'amawanga nga bwe kimenyeddwa ne kifuuka amatongo, nze nzize mu kifo kyakyo, kaakano nja kugaggawala.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, kubanga Ttuulo ayogedde ku Yerusaalemi nti Nyeenya! oyo amenyese eyabanga omulyango ogw'amawanga; akyukidde gye ndi: kaakano ye ng'amaze okuzisibwa nze ndigaggawala: