Ezekiel 26:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ndikukkiriza n'abo abakkirira mu bunnya eri abantu abaasooka; ndikuteeka n'osula mu nnyanga y'ensi, nga mu matongo ag'emirembe n'emirembe, awamu n'abo abakkirira mu bunnya, oleme kudda na kuddamu kufuna kifo mu nsi y'abalamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale ndikussa wansi ng’abo abagenda mu bunnya eri abaafa edda. Olibeera wansi mu ttaka, mu bifo ebyazika edda ennyo, n’abo abaserengeta mu bunnya, so tojja kudda wadde okufuna ekifo mu nsi ya balamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale ndikukkakkanya wamu n'abo abakka mu bunnya, eri abantu ab'omu biro eby'edda, era ndikutuuza mu njuyi z'ensi eza wansi, mu bifo ebyalekebwawo obw'edda, wamu n'abo abakka mu bunnya, olemenga okutuulwamu; era nditeeka ekitiibwa mu nsi ey'abalamu:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kale ndikuserengesa mu bafu abakkirira emagombe, eri abantu ab'emirembe egy'edda. Ndikuteeka ku ntobo y'ensi ekuzimu, mu bifo ebyafuuka edda amatongo, obe wamu n'abafu abali emagombe, olemenga kusengebwangamu, wadde okubalirwanga mu nsi y'abalamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)