Ezekiel 26:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukusaanyaawo mu ngeri ey'entiisa; toliddamu kubaawo. Balikunoonya naye tebalikuzuula emirembe gyonna, Omukama Katonda y'agamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikutuusa ku nkomerero embi, so toliwulirwa nate. Balikunoonya, naye toliddayo kulabika,’ bw’ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ndikufuula entiisa, so tolibaawo nate: newakubadde nga bakunoonya, naye tebaakulabenga nate ennaku zonna, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikutuusa ku nkomerero etiisa, oggweewo, ne bwe balikunoonya batya, oleme kuddayo kulabikako ennaku zonna.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ndikufuula entiisa, so tolibaawo nate: newakubadde nga bakunoonya, naye tebaakulabenga nate ennaku zonna, bw'ayogera Mukama Katonda.