Ezekiel 26:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balisaanyaawo bbugwe wa Tiiro, ne basuula eminaala gyakyo, n'amafunfugu gaakyo ndigeerawo, ne nkirekera ddala olwazi olwereere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balimenya bbugwe wa Ttuulo, ne basuula n’emirongooti gye, era ndiggyawo ebifunfugu bye byonna ne mmufuula olwazi olwereere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balimenya bbugwe wa Ttuulo, bamenye ne minaala gyakyo, ndimuwalakatako ettaka ne mmufuula olwazi olwereere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Galimenya ebigo byo, ne gazikiriza eminaala gyo. Galikukalakatako ettaka, n'osigala lwazi lwereere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale balizikiriza babbugwe ba Ttuulo, ne bamenyera ddala ebigo bye: era ndimukolokotako enfuufu ye, ne mmufuula olwazi olwereere.