Ezekiel 26:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu makkati g'ennyanja kirifuuka wa kwanika butimba, kubanga nze njogedde, y'agamba Omukama Katonda; kirifuuka kya kwenyagira eri amawanga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wakati mu nnyanja alibeera ekifo eky’okwanjulurizangamu obutimba obw’ebyennyanja, kubanga nze njogedde bw’ayogera Mukama Katonda. Alifuuka omunyago ogw’amawanga,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anaabanga kifo kya kwanjulirizangako butimba wakati mu nnyanja, kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda: era kinaabanga munyago gw'amawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Onoobanga kifo abavubi mwe baanika obutimba bwabwe, awo w'oli mu nnyanja. Nze Mukama Afugabyonna, nze njogedde. Amawanga galyefunira omunyago mu Tiiro,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Anaabanga kifo kya kutegerangako migonjo wakati mu nnyanja: kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda: era kinaabanga munyago gwa mawanga.