Ezekiel 26:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kubanga Omukama Katonda kino ky'agamba: Nze nzija kusindikira Tiiro okuva emambuka Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni, kabaka wa bakabaka, ng'ali n'embalaasi n'ebigaali n'abeebagazi n'eggye ddene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era Mukama Katonda agamba nti, ‘Ndiweereza Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni kabaka wa bakabaka, eri Ttuulo okuva mu bukiikakkono, ng’alina embalaasi n’amagaali, n’abeebagala embalaasi n’eggye eddene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga Mukama Katonda bw'ayogera bw'ati nti Laba, ndireeta Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, kabaka asinga bakabaka bonna amaanyi, okuva obukiikakkono, okulumba Ttuulo, ng'alina embalaasi n'amagaali n'abeebagadde embalaasi n'eggye eddene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndireeta Nebukadunezzari Kabaka wa Babilooniya, kabaka asinga bakabaka bonna amaanyi, ajje alumbe Tiiro. Aliva ebukiikakkono, ajje n'eggye eddene omuliba embalaasi, n'amagaali, n'abeebagadde embalaasi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama Katonda bw'ayogera bw'ati nti Laba, ndireeta ku Ttuulo Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni; kabaka wa bakabaka, okuva obukiika obwa kkono, ng'alina embalaasi n'amagaali n'abeebagadde embalassi nekibiina n'abantu bangi.