Ezekiel 27:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja b'e Aruvadi ne Keleki be baakuumanga bbugwe wo ku njuyi zonna. N'ab'e Gammadi baalinga mu minaala gyo, engabo zaabwe nga baziwanika ku bisenge byo ku njuyi zonna; be baakufuula omulungi ggero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja ba Aluwadi n’eggye lyabwe be baakuumanga bbugwe wo enjuuyi zonna; abasajja b’e Gagammada baabanga mu mirongooti gyo nga bawanise engabo zaabwe okwetooloola bbugwe wo, era be baakulabisanga obulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ab'e Yaluvadi wamu n'eggye lyo be baakuumanga bbugwe wo enjuyi zonna; abasajja b'e Gammanda baabanga mu mirongooti gyo nga bawanise engabo zaabwe okwetooloola bbugwe wo, ne baatuukiriza obulungi bwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaserikale b'e Aruvadi awamu n'eggye lyo, be baakuumanga ebigo byo. N'abasajja b'e Gamadi, be baabanga mu minaala gyo. Baatimbanga engabo zaabwe ku bisenge byo ne bakulungiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ab'e Yaluvadi wamu n'eggye lyo baabanga ku babbugwe bo okwetooloola, n'Abagammada baabanga mu bigo byo: baawanikanga engabo zaabwe ku babbugwe bo okwetooloola: baatuukiriza obulungi bwo.