Ezekiel 27:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Tarusisi yasuubulagananga naawe olw'ebintu byo ebingi bye walina; ffeeza, ekyuma, ekikomo, ebbaati n'essasi bye baakusasulanga mu byamaguzi byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Talusiisi yakolanga naawe obusuubuzi obw’obugagga obw’engeri zonna bwe walina, baawanyisanga effeeza, n’ebyuma, n’amabaati n’amasasi bafune ebyamaguzi byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Talusiisi yasuubulanga naawe olw'obugagga obw'engeri zonna bwe walina, baawanyisanga ffeeza, ebyuma, amabaati n'amasasi bafune eby'amaguzi byo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Ab'e Tarusiisi baasuubulagananga naawe ebyamaguzi byo ebya buli ngeri, ne bakusasulamu ffeeza n'ekyuma, n'amabaati, n'amasasi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Talusiisi ye yabanga omusuubuzi wo olw'obugagga obw'engeri zonna: baawangayo olw'obuguzi bwo effeeza n'ebyuma n'amabaati n'amasasi.