Ezekiel 27:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yavani, Tubali ne Meseki bwe mwasuubulagananga; baakusasulanga na baddu n'ebintu eby'ekikomo mu byamaguzi byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Buyonaani, Tubali, ne Meseki be baakusuubulangako, nga muwanyisaganya abaddu n’ebintu eby’ebikomo bafune ebintu byammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'e Yavani, Tubali, ne Meseki, bakusuubulangako, nga bawanyisa abaddu n'ebintu eby'ebikomo okukufunako eby'obuguzi bwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'e Yavani, Tubali ne Meseki, baasuubulagananga naawe. Baawangayo abaddu n'ekikomo, ne bakugulako ebintu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yavani, Tubali, ne Meseki, be baali abasuubuzi bo: baawanga emibiri gy'abantu n'ebintu eby'ebikomo olw'obuguzi bwo.