Ezekiel 27:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja b'e Dedani mwasuubulagananga; ebizinga nkumu ebyakugulangako; baakusasulanga omusolo mu masanga n'emiti gy'emitoogo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Abasajja ab’e Dedani baasuubulanga naawe, era n’abatuuze ab’oku lubalama lw’ennyanja baali katale ko, nga bakusasula n’amasanga n’emitoogo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ab'e Dedani baasuubulanga naawe, era n'abantu ab'oku lubalama lw'ennyanja baali katale ko, nga bawanyisa amasanga n'emitoogo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'e Dedani be wasuubulagananga nabo; era ebizinga bingi wabirinamu akatale. Baakuleeteranga ebintu okuwaanyisaamu amasanga, n'embaawo z'emitoogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ab'e Dedani be baali abasuubuzi bo: ebizinga bingi ebyali akatale ak'omu mukono gwo: baakuleeteranga okuwaanyisa amasanga n'emitoogo.