Ezekiel 27:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Edomu naye mwasuubulagananga olw'ebyo ebingi bye wakolanga; baaleetanga: amayinja karubunkulo, engoye eza kakobe, engoye eza langi entobeke, engoye ez'obufumbo, amasonko n'obuyinja obutwakaavu okugula ebyamaguzi byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Edomu baakolanga naawe eby’obusuubuzi olw’obungi bw’ebintu byo; era baawanyisanga naawe amayinja aga nnawandagala, n’engoye ez’effulungu, n’emirimu egy’eddalizo, ne linena omulungi ne kolali n’amayinja amatwakaavu bafune ebyamaguzi byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasuuli baasuubulagananga naawe olw'ebintu ebingi bye walina, baawanyisangamu amayinja aga nnawandagala n'engoye ez'effulungu, n'emidalizo, ne bafuta ennungi ne kolali n'amayinja amatwakaavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abassiriya baasuubulagananga naawe olw'ebintu ebingi bye wakolanga, bye baakuwangamu amayinja ag'omuwendo, aga kiragala, n'engoye eza kakobe, n'emidalizo, n'engoye enjeru ennungi, n'amayinja amalungi aga korali, n'amamyufu amatwakaavu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusuuli yabanga, musuubuzi wo olw'olufulube lw'emirimu gyo: baawangayo olw'ebintu byo amayinja aga nnawandagala n'olugoye olw'effulungu n'omulimu ogw'eddalizi ne bafuta ennungi ne kolali n'amayinja amatwakaavu,