Ezekiel 27:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda n'ensi ya Yisirayeli nabo mwasuubulagananga nga baleeta okuva e Minniti eŋŋano, pannagi, omubisi gw'enjuki, omuzigo gw'oliva, n'omuzigo gw'eddagala okugula ebyamaguzi byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Yuda ne Isirayiri baakolanga naawe eby’obusuubuzi nga bawaanyisa naawe eŋŋaano eyavanga e Minnisi n’ebyakaloosa, n’omubisi gw’enjuki, n’amafuta n’envumbo, bafune ebyamaguzi byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yuda ne Isiraeri baasuubulagananga naawe, nga bawanyisa naawe eŋŋaano eyavanga e Minnisi, eby'akaloosa, omubisi gw'enjuki, amafuta n'envumbo bafune eby'amaguzi byo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buyudaaya n'ensi ya Yisirayeli zaasuubulagananga naawe. Baawangayo eŋŋaano eyavanga e Minniti, n'ebyakawoowo, n'omubisi gw'enjuki, n'omuzigo, n'envumbo okukugulako ebintu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda n'ensi ya Isiraeri baabanga basuubuzi bo: baawangayo olw'obuguzi bwo eŋŋaano ey'e Minnisi n'eby'akaloosa n'omubisi gw'enjuki n'amafuta n'envumbo.