Ezekiel 27:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Damasiko naye yasuubulagananga naawe olw'okubeera ebingi by'okola n'ebintu byo eby'engeri ezitali zimu; yaleetanga evviini ey'e Keluboni n'ebyoya by'endiga eby'e Zakari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Olw’obugagga bwo obungi, n’ebintu byo ebingi, Ddamasiko baasuubulanga naawe wayini ow’e Keruboni, n’ebyoya by’endiga ebyeru eby’e Zakari.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ddamasiko yasuubulanga naawe olw'ebintu ebingi byewalina, n'olw'obugagga bwo obw'engeri zonna, n'omwenge ogw'e Keruboni n'ebyoya by'endiga ebyeru.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'e Damasiko baakugulangako ebintu bye wakolanga mu bungi, n'ebyobugagga bye walina ebingi ebya buli ngeri. Baabikusasulangamu omwenge gw'emizabbibu ogw'e Helubooni, n'ebyoya by'endiga ebyeru.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ddamasiko yabanga musuubuzi wo olw'olufulube olw'emirimu gyo, olw'olufulube lw'obugagga obw'engeri zonna: n'omwenge ogw'e Keruboni n'ebyoya by'endiga ebyeru.