Ezekiel 27:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Daani ne Yavani olw'ebyamaguzi byo baaleetanga ekyuma ekikolere ddala, embaawo za kassiya n'emmuli okugula ebibyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aba Ddaani ne Yovani (Buyonaani) abaavanga e Wuzari baawanyisanga naawe ekyuma ekiyisiddwa mu muliro n’embawo eza kasiya ne kalamo, ne bagula ebyamaguzi byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Vedani ne Yavani baawangayo olw'ebintu byo obugoogwa, ekyuma ekimasamasa, kasiya ne kalamo baabiwanyisangamu eby'amaguzi byo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Daani ne Yavani beetawulanga, ne bagula ebintu byo. Ekyuma ekimasamasa, ebyamaguzi ebiyitibwa Kassiya ne Keeni, bye bimu ku byali mu by'otunda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Vedani ne Yavani baawangayo olw'ebintu byo obugoogwa: ekyuma ekimasamasa ne kasiya ne kalamo byabanga mu buguzi bwo.