Ezekiel 27:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abatunzi b'e Saba ne Raama, nabo baasuubulagananga naawe; baaleetanga ebika byonna eby'obuwoowo obulungi, amayinja ag'omuwendo ne zaabu okugula ebyamaguzi byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Abasuubuzi ab’e Seeba ne Laama baakolagananga naawe, nga bakusuubulako ebyakaloosa ebisinga byonna obulungi, n’amayinja gonna ag’omuwendo omungi ne zaabu, bafune ebyamaguzi byammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasuubuzi ab'e Seeba ne Laama baabanga basuubuzi bo, nga baakusuubulako ebintu byo eby'akaloosa ebisinga byonna obulungi, n'amayinja gonna ag'omuwendo omungi n'ezaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasuubuzi b'e Seeba ne Raama, baaleetanga ebyakawoowo ebisinga obulungi, n'amayinja gonna ag'omuwendo, ne zaabu, okugula ebintu byo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasuubuzi ab'e Seeba ne Laama baabanga basuubuzi bo: baawangayo olw'ebintu byo eby'akaloosa ebisinga byonna n'amayinja gonna ag'omuwendo omungi n'ezaabu.