Ezekiel 27:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Amaato g'e Tarusisi ge gaakutwaliranga ebyamaguzi byo; ojjudde era ozitoye nnyo eyo mu buziba bw'ennyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Ebyombo eby’e Talusiisi bye byatambuzanga ebyamaguzi byo. Era wajjula n’oba n’ebintu bingi wakati mu nnyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyombo by'e Talusiisi bye byatambuzanga eby'amaguzi byo.” “Wagaggawala n'oba wa kitiibwa kinene wakati mu nnyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eby'obusuubuzi byo byatwalirwanga mu maato amanene, ag'e Tarusiisi. Wajjula ng'emmeeri, n'oba waakitiibwa mu nnyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyombo eby'e Talusiisi bye byakutambuliranga olw'obuguzi bwo: era wagaggawala n'oba wa kitiibwa kinene mu mutima gw'ennyanja.