Ezekiel 27:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakubi bo ab'enkasi bakutuusa mu mazzi amangi; na naye kibuyaga ow'e maserengeta ajja kukuseseggulira eyo mu buziba bw'ennyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakubi b’enkasi bakutwala awali amayengo amangi. Naye omuyaga ogw’Ebuvanjuba gulikumenyeramenyera wakati mu nnyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abavuzi bo baakutuusiza awali amazzi amangi. Omuyaga ogw'ebuvanjuba gukumenyedde wakati mu nnyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abavuzi b'enkasi zo baakutuusa mu mazzi amangi. Omuyaga gw'ebuvanjuba gukumenyedde mu buziba bw'ennyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abavuzi bo baakuuusiza awali amazzi amangi: omuyaga ogw'ebuvanjuba gukumenye mu mutima gw'ennyanja.