Ezekiel 27:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Embalama ziriyuuguuma olw'okuleekaana kw'abalunnyanja bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eddoboozi ly’okukaaba kw’abalunnyanja bo, kulikankanya ebyalo ebiri ku lubalama lw’ennyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eddoboozi ly'okukaaba kw'abagoba bo, ebyalo ebiriraanyeewo birikankana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuleekaana kw'abagoba bo, kulikankanya ebyalo ebiriraanyeewo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'eddoboozi ery'okuleekaana kw'abagoba bo, ebyalo ebiriraanyeewo birikankana.