Ezekiel 27:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna abakubi b'enkasi balyabulira amaato gaabwe. Abagoba b'amaato n'abalunnyanja bonna baliyimirira ku lukalu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakubi b’enkasi bonna balyabulira ebyombo byabwe; n’abagoba n’abalunnyanja bonna baliyimirira ku lubalama lw’ennyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo bonna abakwata enkasi, abalunnyanja n'abagoba bonna ab'oku nnyanja baliva mu byombo byabwe, baliyimirira ku lukalu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abakwata enkasi bonna, na buli mulunnyanja, emmeeri zaabwe balizaabulira, ne bayimirira ku lubalama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo bonna abakwata enkasi, abalunnyanja n'abagoba bonna ab'oku nnyanja baliva mu byombo byabwe, baliyimirira ku lukalu,