Ezekiel 27:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
gamba Tiiro asula ku mugguukiriro gw'ennyanja, asuubula n'abantu ku mbalama ennyingi nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Ggwe Tiiro, wagamba nti: “Ndi mulungi ggero!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyogere eri Ttuulo, ekiri awayingirirwa mu nnyanja, omusuubuzi ow’amawanga ag’oku ttale ery’ennyanja, nti bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “ ‘Ggwe Ttuulo oyogera nti, “Natuukirira mu bulungi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ogambe Ttuulo ekiri ku mwalo gw'ennyanja, omusuubuzi w'abantu abokumbalama ennyingi nti, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda,” “Ggwe, Ttuulo oyogedde nti, ‘Nze nnatuukirira mu bulungi.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okigambe nti: Ggwe Tiiro, omwalo gw'ennyanja, era asuubulagana n'abantu ab'oku bizinga ebingi, Mukama Afugabyonna akugamba nti: ‘Ggwe Tiiro, ogamba nti oli mulungi, toliiko bbala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ogambe Ttuulo nti Ai ggwe atuula awayingirirwa mu nayanja, omusuubuzi ow'amawanga eri ebizinga bingi, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ggwe, ai Ttuulo oyogedde nti Nze natuukirira mu bulungi.