Ezekiel 27:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balikukubira emiranga egy'omwanguka, baliraajana mu kunyolwa ku lulwo. Balyeyiwa evvu mu mitwe, ne beevulungula mu vvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baliyimusa amaloboozi gaabwe ne bakukaabira nnyo; era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwe ne beevulunga mu vvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era baliyimusa amaloboozi gaabwe, nga bakukaabira, era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne beevulunga mu vvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balireekaana nga bakungubaga ku lulwo. Balyeyiira enfuufu mu mitwe gyabwe, ne beekulukuunya mu vvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era baliwuliza eddoboozi lyabwe, nga bakukaabira, era balirira nga baliko obuyinike, ne basuula enfuufu ku mitwe gyabwe, era balyekulukuunya mu vvu: