Ezekiel 27:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balyewalakata emitwe olw'okubeera ggwe, ne beesiba ebikutiya. Balikukaabira n'okunyolwa mu mitima, balikungubaga n'ennyiike.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balikumwera emitwe gyabwe, era Balyambala ebibukutu. Balikukaabira n’emmeeme ezennyamidde nga bakukungubaga n’emitima egijjudde ennyiike.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balikumwera emitwe gyabwe, nga bambadde ebibukutu, era balikukaabira nga emmeeme zaabwe zijjudde obuyinike, nga bakungubaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lulwo balyemwako enviiri, ne bambala ebikutiya. Balikukaabira amaziga, emitima gyabwe ne gijjula ennyiike.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era balikumwera ne beesiba ebibukutu, era balikukaabira amaziga emmeeme zaabwe nga ziriko obuyinike, nga bawuubaala nnyo nnyini.