Ezekiel 27:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bakukaabira, bakukungubagira, balikuyimbira oluyimba olw'okukungubaga nti: “Ani yali asirisiddwa nga Tiiro wakati mu nnyanja?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balikukungubagira nga bwe bakuba ebiwoobe nga boogera nti, Ani eyali asirisibbwa nga Ttuulo eyeetooloddwa ennyanja?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo balikuba ebiwoobe nga bakungubaga, ne bakukungubagira nga boogera nti Ani afaanana Ttuulo, afaanana oyo asirisibwa wakati mu nnyanja?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balikuba ebiwoobe mu kukungubaga, ne bakaaba ne basindogoma nti ani yenkana Tiiro, Tiiro oyo asirikkidde mu nnyanja!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo nga bakuba ebiwoobe balitanula okukukungubagira ne bakukungubagira nga boogera nti Ani afaanana Ttuulo, afaanana oyo asirisibwa wakati mu nnyanja?