Ezekiel 27:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyamaguzi byo bwe byagobanga okuva mu nnyanja, wakkusanga amawanga mangi; n'obugagga bwo n'ebyettunzi byo wagaggawaza bakabaka b'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waweerezanga ebyamaguzi byo ku nnyanja, amawanga mangi gamalibwanga; era ne bakabaka b’ensi baagaggawazibwa eby’obugagga bwo ebingi n’ebyamaguzi byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebintu byo bwe byavanga ku nnyanja, wajjuzanga amawanga mangi: wagaggawaza bakabaka b'ensi n'eby'obugagga byo ebingi, n'eby'amaguzi byo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu byo bwe byagobanga ku lukalu nga biggyiddwa mu nnyanja, wamalangawo obwetaavu bw'abangi, n'ogaggawaza bakabaka b'ensi, olwa nnamunkukumbo w'obugagga bwo, n'ow'eby'obusuubuzi bwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebintu byo bwe byavanga ku nnyanja, wajjuzanga amawanga mangi: wagaggawaza bakabaka b'ensi n’olufulube lw'obugagga bwo n'olw'obuguzi bwo.