Ezekiel 27:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kati osesegguddwa ennyanja mu mazzi g'omu ddubi; ebyamaguzi byo n'abalunnyanja batokomose naawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano ennyanja ekumazeewo, mu buziba bw’amazzi; ebyamaguzi byo n’ab’omu kyombo kyo bonna babbidde naawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ennyanja bwe yakumenya mu buziba obw'amazzi, obuguzi bwo n'ekibiina kyo kyonna ne bigwa wakati mu ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano omenyekedde mu nnyanja, mu bwengula bw'amazzi amangi. Ebibyo n'abakozi bo bonna batokomokedde mu ggwe, mu nnyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ennyanja bwe yakumenya mu buziba obw'amazzi, obuguzi bwo n'ekibiina kyo kyonna ne bigwa wakati mu ggwe.