Ezekiel 27:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emivule okuva e Basani gye gyakola enkasi zo; emmanga zo za mu sipulaasi ow'e Kittimu okubembekeddwa essanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bakola enkasi zo okuva mu myera egya Basani, n’emmanga zo, bazikola mu nzo, ez’oku bizinga ebya Kittimu, nga bazaaliiridde n’amasanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu myera egya Basani mwe bakola enkasi zo, emmanga zo bazikozezza masanga agawaayirwa mu nzo ezaava ku bizinga by'e Kittimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu myera gye Basani mwe baakola enkasi zo. Baakwaliiramu embaawo ez'enzo, eziva mu bizinga by'e Kittimu, ze bawaayiddemu amasanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enkasi zo bazikoze mu myera egya Basani: emmanga zo bazikozezza masanga agawaayirwa mu nzo ezaava ku bizinga bya Kittimu.