Ezekiel 27:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakadde n'ababazzi be Gebali baalinga mu ggwe okuddaabiriza ennyaafa. Amaato gonna ag'ennyanja n'abagoba baago baalinga mu ggwe, basuubule ebyamaguzi byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja abazira ab’e Gebali n’abagezigezi baaberanga mu ggwe, era ng’omulimu gwabwe kunyweza emiguwa gy’ebyombo; ebyombo byonna eby’oku nnyanja n’abagoba baabyo bajjanga okusuubula naawe; nga bagula ebyamaguzi byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakadde ba Gebali n'abakugu baayo baali mu ggwe, nga be baddabiriza ekyombo kyo. Ebyombo byonna eby'oku nnyanja n'abalunnyanja baabyo baabanga mu ggwe okusuubula eby'amaguzi byo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abakulu mu Gebali n'abagezi baayo, baali mu ggwe, nga be baddaabiriza emmeeri zo. Emmeeri zonna ez'oku nnyanja n'abalunnyanja baazo, baabeeranga mu ggwe okusuubula ebyamaguzi byo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakadde ba Gebali n'abagezigezi baayo baali mu ggwe, nga be bakonzi bo: ebyombo byonna eby'oku nnyanja n'abalunnyanja baabyo baabanga mu ggwe okuwamba eby'obuguzi bwo.