Ezekiel 28:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olifa enfa y'abatali batayirire mu mikono gy'abagwira. Kubanga nze njogedde, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olifa okufa okw’abatali bakomole, mu mikono gya bannaggwanga, nze nkyogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olifa okufa okw'abatali bakomole, mu mikono gya bannamawanga, kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olifa ng'embwa mu mikono gya bannaggwanga abatamanyi Katonda. Nze Mukama Afugabyonna, Nze njogedde.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olifa ng'abo bwe bafa abatali bakomole n'omukono gwa bannaggwanga: kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda.