Ezekiel 28:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, yimba oluyimba olukungubagira kabaka w'e Tiiro, omugambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Wali lugero lwa bulungi ng'ojjudde amagezi, oli mulungi ggero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu kungubagira kabaka w’e Ttuulo, omutegeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “ ‘Ggwe wali ekyokulabirako ekituukiridde ng’ojjudde amagezi era nga watuukirira mu bulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Omwana w'omuntu, kungubagira kabaka w'e Ttuulo, omugambe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda,” “Gwe wali kabonero akatuukiridde ng'ojjudde amagezi, ng'otuukiridde bulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, kungubagira Kabaka wa Tiiro, omutegeeze Nze Mukama Afugabyonna bye mmugamba nti: ‘Wali kyakulabirako eky'omuntu atuukiridde, ng'ojjudde amagezi, era ng'oli mulungi nnyo mu ndabika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, tanula okukungubagira kabaka w'e Ttuulo omugambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ossa akabonero ku muwendo, ng'ojjudde amagezi, ng'otuukiridde obulungi.