Ezekiel 28:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wali mu Edeni mu nnimiro ya Katonda ng'obikkiddwa buli jjinja lya muwendo: sarudiyo, topaziyo, berullo, kirusolito, oniki, yasipi, saffiro, karubunkulo ne simaragido; ebinyere byo n'empeta nga byakolebwa mu zaabu; ku lunaku kwe wazaalibwa lwe byategekebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wali mu Adeni, ennimiro ya Katonda; buli jjinja ery’omuwendo nga likubikako, sadio, topazi, alimasi, berulo, onuku, yasipero, safiro, ejjinja erya nnawandagala. Okuteekebwateekebwa kwo n’ebikunyweza byakolebwa mu zaabu. Era ku lunaku lwe watondebwa, byategekebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wali mu Edeni, olusuku lwa Katonda; buli jjinja ery'omuwendo omungi lyabanga lya kukubikkako, sadiyo, topazi, alimasi, berulo, sokamu, yasepi, safiro, ejjinja erya nnawandagala, kabunkulo, ne zaabu. Emirimu egy'ebitaasa byo n'egy'endere zo gyali mu ggwe, gyategekebwa ku lunaku kwe watonderwa
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wali obeera mu Edeni, ennimiro ya Katonda, ng'owundiddwa na buli jjinja ery'omuwendo ennyo: sarudiyo, topaazi, alimaasi, berulo, onikiso, yasipero, safiro n'ejjinja erya kiragala, ne kabunkulo, ne zaabu. Byakutegekerwa ku lunaku kwe watonderwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wali mu Adeni olusuku lwa Katonda; buli jjinja ery'omuwendo omungi lyabanga lya kukubikkako, sadio, topazi, ne alimasi, berulo, sokamu, ne yasepi, safiro, ejjinja erya nnawandagala, ne kabunkulo, ne zaabu: emirimu egy'ebitaasa byo n'egy'endere zo gyali mu ggwe; gyategekebwa ku lunaku kwe watonderwa.