Ezekiel 28:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nakussaawo ng'omukerubi ow'okukuuma; wali ku lusozi lwa Katonda olutukuvu, ng'otambulira mu mayinja ag'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wali kerubi omukuumi eyafukibwako amafuta, nakwawula lwa nsonga eyo. Wabeeranga ku lusozi olutukuvu olwa Katonda, n’otambulira wakati mu mayinja ag’omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nakuteekako kerubi eyafukibwako amafuta okukukuuma, wali ku lusozi lwa Katonda olutukuvu, ng'otambulira wakati mu mayinja ag'omuliro
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nalonda kerubi ne mmuteekawo okukukuuma. N'obeera ku lusozi lwa Katonda olutukuvu, n'otambulira wakati mu mayinja agamyamyansa ng'omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wali kerubi eyafukibwako amafuta abikkako: era nze nakusimba n'okubeera n'obeera ku lusozi lwa Katonda olutukuvu; watambula eruuyi n'eruuyi wakati mu mayinja ag'omuliro.