Ezekiel 28:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wali toliiko musango mu makubo go okuva ku lunaku lwe watondebwa okutuusa obugwenyufu lwe bwazuuka mu ggwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewaliiko kya kunenyezebwa kyonna okuva ku lunaku lwe watondebwa, okutuusa obutali butuukirivu bwe bwalabika mu ggwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewaliko kya kunenyezebwa kyonna okuva ku lunaku kwe watonderwa okutuusa obutali butuukirivu lwe bwalabika mu ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Empisa zo zaali nnungi okuva lwe watondebwa, okutuusa lwe watandika okukola ebibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wali ng'otuukiridde mu makubo go okuva ku lunaku kwe watonderwa okutuusa obutali butuukirivu lwe bwalabika mu ggwe.