Ezekiel 28:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kusuubula kwo bwe wagaziwa, wajjula obukambwe n'oyonoona. Kyennava nkugoba ku lusozi lwa Katonda olw'obwonoonefu bwo, ne nkuzikiriza, gwe omukerubi omukuumi, eyakuumiranga wakati mu mayinja ag'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu bikolwa byo ebingi, wajjula empisa embi, era n’okola ebibi. Kyennava nkugoba ku lusozi lwa Katonda, mu buswavu obungi ne nkugoba ggwe kerubi eyakuumanga okuva mu mayinja ag’omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukusubuula kwo okungi, wajjula obukambwe, n'oyonoona. kyenvudde nkusuula nga nkuggya ku lusozi lwa Katonda, ne kerubi akukuuma n'akugoba okuva wakati mu mayinja ag'omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weemalira mu byobusuubuzi, ne bikuleetera obukambwe n'okola ebibi. Kyenvudde nkugoba ku lusozi lwange olutukuvu nga nkulanga obwonoonefu bwo, kerubi eyali akukuuma n'akugoba, n'oggyibwa ku mayinja agamyamyansa ng'omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baakujuzza wakati ekyejo olw'olufulube olw'okusuubula kwo, n'oyonoona: kyenvudde nkusuula nga nkuggya ku lusozi lwa Katonda nga nkulanga obwonoonefu; era nkuzikirizza, ai kerubi abikkako, okuva wakati mu mayinja ag'omuliro.