Ezekiel 28:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gwo gwegulumiza olw'obulungi bwo; wafaafaganya amagezi go ku lw'ettendo lyo; nze kwe kukusuula ku ttaka, ne nkufuula eky'okwerolera mu maaso ga bakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutima gwo gwalina amalala olw’obulungi bwo, ne weelimbalimba olw’ekitiibwa kyo. Kyennava nkukanyuga ku nsi ne nkufuula eky’okusekererwa mu maaso ga bakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutima gwo gwalina amalala olw'obulungi bwo, wakyamya amagezi go olw'okumasamasa kwo. nkusudde wansi, nkutadde mu maaso ga bakabaka, bakutunuulire.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weekulumbaza olw'obulungi bw'endabika yo, ettutumu lyo ne likuleetera okweyisa ng'omusiru. Kyennava nkusuula wansi, ne nkuteeka mu maaso ga bakabaka abalala, bakutunuleko balabuke.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutima gwo gwagulumizibwa olw'obulungi bwo, wakyamya amagezi go olw'okumasamasa kwo: nkusudde wansi, nkutadde mu maaso ga bakabaka, bakutunuulire.