Ezekiel 28:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okuyitiriza ennyo mu butaba mwenkanya n'olw'ensuubulagana yo embi, wajaajaamya ebifo byo ebitukuvu. Nze kwe kutumbula omuliro mu makkati go ne gukusenkenya; nzija kukufuula vvu ku nsi, mu maaso ga bonna abaakulaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’ebibi byo ebingi n’olw’obukumpanya bwo oyonoonye ebifo byo ebitukuvu. Kyenava nziggya omuliro mu ggwe ne gukusaanyaawo, ne nkufuula evvu ku nsi wakati mu abo bonna abaakulabanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'ebibi byo ebingi, mu kusuubula kwo okutali kwa mazima, wayonoona ebifo byo ebitukuvu. Kyennava nziggya omuliro wakati mu ggwe, ne gukusaanyawo, ne nkufuula evvu ku nsi mu maaso g'abo bonna abaakulabanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'ebibi byo ebingi n'obukumpanya mu busuubuzi bwo, wavumaganya ebifo byo ebitukuvu. Kyenvudde nzigya omuliro wakati mu ggwe ne gukwokya, abakutunulako bonna ne balaba bw'ofuuse evvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wayonoona ebifo byo ebitukuvu olw'olufulube olw'obutali butuukirivu bwo mu kusuubula kwo okutali kwa mazima; kyenvudde nziya omuliro wakati mu ggwe, gukwokezza, era nkufudde evvu ku ttaka mu maaso g'abo bonna abakutunuulira.